Empaka z’ekikopo kya Afrika zisembedde.

0

Bano babadde bamaze omwezi gumu n’ekitundu nga batendekebwa wansi w’omutendesi Jackson Mayanja ‘Mia Mia’ era akawungeezi k’eggulo (February 12) baasitudde ku kisaawe Entebbe nga kati bagenyi e Misiri.

Okusinziira ku mutendesi Mayanja agamba nti ekyabatutte mu Misiri amangu kwe kufuna obudde obumala okutendekerwa mu bisaawe byayo kw’ossa okufuna enzannya ez’omukwano n’amawanga amalala agabasingako.

Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga Uganda yeetaba mu kikopo kino ku mutendera gw’abatasussa myaka 20, sizoni ewedde baakubwa Ghana (2-0) ku fayinolo eyali e Mauritania.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *