Enjogera ey’ebizibu tebimanya nnyumba mbi,etuukidde bulungi ku yali ssita wa Brazil ne Barcelona,Dani Alves,kiraabu y’e Mexico,UNAM Pumas bw’emusabye agisasule obukadde bwa pawundi 6 lwa kumenya ndagaano.

Aba Pumas bagamba nti Alves tabazannyidde bbanga(mwaka gumu)lye baateesa mu ndagaano.

Bino we bijjidde nga Alves ali mu kkomera lwa kukaka mukazi mukwano kyokka nga ne gavumenti ya Spin emubanja omusolo gwa bukadde bwa pawundi 2.02.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *