Etegekka za FUFA okutwala emipiira gya Cranes e Misiri.

0

Etegekka za FUFA okutwala emipiira gya Cranes e Misiri.Uganda ekyaza Tanzania nga March 20, mu kibinja F wabula CAF yakatemye FUFA nga Uganda bw’eterina kisaawe kisaawe kyonna kiri ku mutindo okusobola okukyaza emipiira egy’omuzinzi.

EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu ggwanga ekya (FUFA) kironzeewo eggwanga lya Misiri gye bagenda okukyaliza emipiira gyayo egy’okusunsula abalyetaba mu mapaka za AFCON ez’omwaka guno.

Uganda ekyaza Tanzania nga March 20, mu kibinja F wabula CAF yakatemye FUFA nga Uganda bw’eterina kisaawe kisaawe kyonna kiri ku mutindo okusobola okukyaza emipiira egy’omuzinzi.

Wiiki ewedde, pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo bwe yategeezezza nti omupiira gwa Uganda ne Tanzania baakuguzannyira mu nsi ndala olw’ebbula ly’ebisaawe.

“Tuli mu kulowooza ku kyaza mipiira gyaffe mu nsi okuli Zambia, Malawi oba Egypt kuba be batuli okumpi. Wadde nga balirwana baffe tewali n’omu alina kisaawe kiri ku mutindo okuggyako Tanzania ate tetusobola kukyalizayo kuba be tuzannya,” Magogo bwe yategeezezza.

Mu kaseera kano Misiri ye yokka FUFA gye tutunuulidde okulaba okukyaliza emipiira egisigadde mu kibinja.

Egypt balina ebisaawe eby’enjawulo CAF ne FIFA bye yakkiriza era Uganda egenda kukozesa ebimu ku bisaawe bino. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *