Jackson Mayanja omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos) agambye nti kati musanyufu olw’abazannyi be abatandise okukwatagana obulungi ku kisaawe. Mayanja agamba nti oluvannyuma lw’okumala ebbanga mu nkambi nga batendekebwa kati enkwatagana yaabwe emuwa essanyu. 

Ttiimu eno yeetegekera mpaka za AFCON ez’abatasussa myaka 20 ezigenda okuyindira e Misiri omwezi okuva nga February 19 okutuuka nga March 11 omwezi ogujja. 

Ttiimu eno yatendekeddwa mu kisaawe e Lugogo era Mayanja yagambye nti abanzannyi okuba nti bazannyisa buvumu ng’ate balagana bulungi, kimusanyusa kuba buli omu alaga nti alwanira ennamba. 

“Buli muzannyi azannyisa bumalirivu okunkakasa nti asobola wabula ekimpadde essanyu be bazannyi okulaga enkwatagana n’omukwano nga buli omu musanyufu ekintu ekizzaamu amaanyi nti n’obuwanguzi tujja kubufuna mu mpaka zino,” Mayanja bwe yategeezezza. 

Mu 2021, ttiimu eno yakoma ku fayinolo bwe yakubwa Ghana (2-0) ku fayinolo  ezaali e Mauritania. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *