Bino byali bya kujja emyezi esatu emabega nga yunivasite eno yeetegekera okukyaza emizannyo gy’obuvanjuba bwa Afrika egyakomekkerezeddwa omwezi oguwedde kyokka n’egwa (Ndejje) mu mabanja agaagiremesa okusasulira ebikozesebwa ebyo.

Akulira ebyensimbi ku yunivaiste y’e Ndejje, Paul Mark Kayongo yannyonnyodde nti baakola bajeti y’okuzimba ebisaawe by’emizannyo egisinga obungi (Sports Complex), gavumenti n’ebasuubiza obuwumbi 32 naye nga yaakabawaako 3.8.

“Ebintu byonna bye twabalirira okugula ebweru w’eggwanga byaggwa naye embeera ya ssente etuleeze nga ku kizibu ky’ebisale by’entambukla y’ennyonyi kwegasseeko okusasulira ebbanga eddene ebintu ebyo lye bimaze e Mombasa, China ne Girimaani.

Ssente za bino byonna zaalina kuva mu nsawo ya yunivasite eyawomoggoka ennyo olw’amabanja g’okutegeka emizannyo gya East Afrika,” Kayongo bwe yalambise.

Yasabye Bannayuganda ab’ekisa okubadduukirira mu byensimbi n’ajuliza nti, “Ebisaawe bino byonna ebigenda okuzimbwa, bijja kuyamba abatuuze, amasomero ne ttiimu z’eggwanga okutendekerwako, n’okutegekerako empaka z’emizannyo.”

Okugula ebikozesebwa bino, Kayongo agamba nti baakozesezza kkampuni ezeesigika mu byemizannyo okuli; Guangzhou Shengdong eyagula ebyazimba ekisaawe kya Abebe Bikila mu Ethiopia, Ruringu ne Kirubia Stadium ebya Kenya, n’endala ezirina amakanda mu Thailand, Indonesia, Buyindi ne Phillipines.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *