Omutendesi wa Brazil, Tite alabudde ttiimu z’azzaako mu World Cup okujja nga zeenywezezza kuba bassita be baatandise okukoleera.

Okwogera bino kyaddiridde Brazil okumegga South Korea ku ggoolo 4-1 ku luzannya lwa ttiimu 16.

Obwanga kati babwolekezza Croatia bwe battunka ku ‘quarter’ ku Lwokutaano. Okuva empaka zino eziyindira e Qatar lwe zaatandika, Brazil wadde y’emu ku zibalirwa kukikopo, ebadde tekubangako ggoolo 4 mu muzannyo.

Ogwasooka yawangula Serbia (2-0) ne Switzerland (1-0) nga tennakubwa Cameroon (1-0) mu kibinja.

“Kimpa emaanyi n’essuubi nti tusobola okuwangula ekikopo kino kuba obutateeba ggoolo ziwera kibadde kinnumya omutwe. Omupiira gwa Korea gwandaze nti tuli ba maanyi,” Tite bwe yawaze.

ABEETONDEDDE

Ng’omupiira guwedde, Tite yeetondedde aba South Korea olw’enjaganya ye ne batabani be gye baakozesezza abamu gye baalabye ng’ey’okujooga.

Tite 61,

Tite 61, n’abazannyi be baazinye ng’omupiira guwedde ng’amazina gano geegasse kw’ago obwedda abazannyi be ge bazina nga bateebye.

“Be kyanyiizizza bansonyiwe naye e Brazil okuzina kye kimu ku bintu mwe tulagira essanyu era tewali gwe twabadde tusoomooza,” Tite bwe yategeezezza abaamawulire.

be baazinye ng’omupiira guwedde ng’amazina gano geegasse kw’ago obwedda abazannyi be ge bazina nga bateebye.

“Be kyanyiizizza bansonyiwe naye e Brazil okuzina kye kimu ku bintu mwe tulagira essanyu era tewali gwe twabadde tusoomooza,” Tite bwe yategeezezza abaamawulire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *