Busoga College Mwiri ewagudde Jinja SS mu mpaka za Table Tennis.

0

Seth Mpoya Patrick Kalema ,Ivan Ssenyonjo, Jesse Muwanguzi,Joseph Egesa baayambye essomero lya Busoga College Mwiri okuwuttula abaggya baabwe aba Jinja Senior secondary ku bugoba 4-1 ne beetikka empaka z’amasomero ga siniya eza Jinja Table Tennis ez’okwegezaamu ezaayindidde ku ssomero lya Jinja SS ku lwomukaaga.

Empaka zinno zaategekeddwa kkampuni ya Mutaz Sports Center ekulirwa Paul Mutambuze.Ono yasanyukidde bamusaayimuto abangi abettanidde omuzannyo guno.

Naakatendeka omuzannyo guno mu masomero gano naye ekisanyusizza kwe kulaba abayizi abangi abatandise okwetaba mu kuguyiga ku sipiidi eya waggulu,Mutambuze bwe yagambye.

Mutambuze yagambye nti alina ekirooto ky’okutegeka empaka z’amasomero g’omu Jinja omwaka ogujja n’ekigendererwa ky’okubunyisa omuzannyo guno mu buvanjuba bw’eggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *