Oluvannyuma lw’okuwumiza Hudson Muhumuza,omuggunzi w’enguumi Yusuf Babu ayongendde okwera bw’agenda okuggunda buli abamwepimamu.

Babu yaggunze Muhumuza eng’uumi azaamulese ng’aboologera mu miguwa ekyacamudde abawagizi be ne bayimuka na bamuwa emizira n’obugalo.

Luno lwabadde lulwana lwe olwasoose mu bikonde ebya pulofesono ku MTN Arena e Lugogo.

Battunkidde mu buzito bwa heavy ng’olulwana luno lwetabiddwako namungi w’abawagizi.Yaluwangulidde ku bu bonero 58-52,59-51 ne 57- 53.

Babu agamba nti ekiruubirirwa kye kya kuwangula misipi gya muzinzi ku lukalu lwa lwa Afrika ne ku ddaala ly’ensi yonna.

Babu, yaliko kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2017 gye yawangulira emidaali gya zaabu ebiri mu mpaka za Afrika Boxing Championships eza 2017 e Congo Brazza Ville n’endala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *