Onyango alondeddwa ng’omukwasi wa ggoolo asinze mu myaka 10.

0

Eyaliko omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes omukwasi wa goolo, Dennis Masinde Onyango, alondeddwa ng’omukwasi wa ggoolo esinze mu myaka 10 egiyise, nateekebwa  ku ttiimu y’empaka za CAF Champions League.

Ttiimu eno erimu abazannyi 11 abasinze okucanga omupiira mu Afirika okuva mu mwaka gwa 2010 okutuuka mu 2020 era obwedda  abantu basinziira ku mutimbagano nebalonda abazannyi ab’enjawulo.

Ekimu ku biwadde Onyango enkizo kwekuyambako ttiimu ya Mamelodi Sundowns okuwangula ekikopo kya CAF Champions League mu 2016 era wano afuniddewo obubonero bungi ddala.

Kinajjukirwa nti mu mwaka guno gwe gumu Onyango yalondebwa nga omukwasi wa ggoolo eyali asinze mu Afirika.

Abazannyi babiri bokka bebasobodde okuva mukitundu kya East Afrika nga omulala we Mutanzania owa kiraabu ya TP Mazembe eya Congo nga ono naye yakola nnyo okugisobozesa okuwangula ekikopo kya CAF Champions League.

Ekitundu kya North Afirika kyerisiza nkuuli mukuleeta abazannyi abangi nga mu bano kuliko; Wael Gomma,  Ahmed Fatty, Hossam Ghaly, Hossam Ashour, Ali Maaloul ne Walid Soliman.

Abalala abalondeddwa ku ttiimu eno ye munnansi wa South Afirika  Percy Tau nowa Zimbabwe Khama Billiat.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *