Ttiimu y’abazannyi 12 esitula leero okwolekera Bungereza gy’egenda okuzannyira emipiira esatu ne bannyinimu aba Bungereza.Emipiira gya kuzannyibwa nga October 5,8 ne 9.

 Nga tebannazannya Bungereza ,She Cranes yaakusooka kuzannya mipiira gya mukwano ne Northern Ireland ku lwokusatu ne (September 28-29) ate ku lwomukaaga ne ssande (October 1ne2) bazanye Wales.

Ku bazannyi abayitiddwa,munaana bokka be baabadde mu Bungereza mu mizannyo gya Common wealth ne she Cranes sso nga baayongeddwaako be baabadde ku ttiimu nga yetegekeera emizannyo gye gimu kyokka ne batagenda.

Abazannyi abapya abeegasse ku ttiimu kuliko Shakira ,Nakanyike ,Viola Asingo, Faridah Kadondi ne Rosetfe Namutebi.Abasuuliddwa ye Stella Oyella,Shaffie Nalwanja,Jesca Achan ne Norah Lunkuse.

Akulira emirimu mu kibinja ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka ekya Uganda Netball Federation (UNF),Francis Banya yategeezezza nga bwe batandise okwetegekera World Cup eneebeera mu South Afrika omwaka ogujja.

Banya yategeezezzza nti amawanga gonna ge tugenda okuzannya gaakubeerayo mu World Cup era kino kigenda kutuyamba okongera okutegeera enzannya yaago.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *