Lutalo ne banne bayimiriziddwa okutendeka ttiimu y’eggwanga ey’abakazi.

0

Mu lukiiko lwa FUFA olufuzi olwatudde gye buvuddeko, lwasazeewo Lutalo n’abayambi be bonna ku tiimu y’eggwanga ey’abakazi bayimirizibwe bunnambiro olw’okwolesa omutindo omubi mu za Afrika ez’abakazi.

Omutendesi wa ttiimu y’egwanga ey’omupiira gw’abakazi eya Crested Cranes George Lutalo n’akakiiko ke konna baakwatiddwa ku nkoona oluvannyuma lw’akakiiki aka FUFA akafuzi okutuula ku Lwokusatu oluwedde ne kafulumya ekiwandiiko.

Lutalo abadde omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’abakazi ne banne okuli; Edward Kazba omumyuka ne James Magala abadde atendeka baggoolokipa. Abalala kuliko, Arthur Kyesimira (Fitness Trainer), Prossy Nalwadda (Kits Manager) ne Paul Ssaali abadde maneja wa ttiimu eno eya Crested Cranes nga bonna baagobeddwa.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa mikutu gya FUFA. Kigamba nti eno y’emu ku nsonga eyayimirizisizza Lutalo ne banne gwe mutindo ogw’ekibogwe gwe baayolesezza mu mpaka za Afrika ezaabadde e Morocco.

Lutalo yasikira Faridah Bulega omwaka oguwedde ,abadde yaakazannya emipiira 13 n’awangula musanvu. Crested Cranes teyava mu kibinja mu za Afrika nga mu mipiira esatyu gye baazannya ,baakubwa ebiri ne balemagana omupiiragumu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *