Kiplangat amenye likodi mu gya Common Wealth.

0

Victor Kiplangat ye munnayuganda asoose okuwangulira Uganda omudali gwa zzaabu mu mizannyo gya Common Wealth egiyindira mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.

Kiplangat 22, omuddusi w’embiro mubunabyalo (Mountain and Road runner Marathon) yakozesa essawa 2:10:55 n’amegga omutanzaniya Alfred Simbu n’omunakenya Micheal Githae.

Ono ye zzaabu wa Uganda asoose mu byafaayo by’embiro zimubunabyalo (Marathon),Solomon Mutai yawangulako ffeeza mu gya Common Wealth 2018 mu Gold Cost ekya Australlia.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *