Abeebikonde besunze kudda nabuwangunzi.

0

Abakubi b’ebikonde Isaac Zebra Ssenyange Jr ne Jonah Kyobe balinze ffirimbi yokka bayingire emiguwa mu mizannyo gya Common Wealth egiyindira mu kibuga Birminghame e Bungereza.

Ssenyange Jr mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange waakuttunka ne Rena Pakela munnasi wa Lesotho mu buzito bwa ‘Light Middle’ ku luzannya lwa 32 enkya ku lwomukaaga ssaawa 9:30 ez’emisana.Battunikira mu Solihull National Exhibition Centre nga Ssenyange aweze okukola ekisoboka afune obuwanguzi.

Kyobe waakwabika ne George Molwatwa owa Botswana mu buzito bwa ‘Feather’ ku ssaawa 8:00 nga naye ayogeza mannyi nga bwakimye obuwanguzi.

Leero ku saawa 8:00 kapiteeni wa The Bombers Joshua Tukamuhebwa ali mu nsiike mu buzito bwa ‘Light Welter’ mw’attukira ne John Paul Hale owa Northern Ireland.

Emizannyo gya Common Wealth eggulo lwe gyatandiise mu butongole,Uganda yatutte abeekikonge 6 ng’abalala kuliko Tedday Nakimuli ow’okuttunka ne Sara Hagnighat – Joo (Sierra,Leone) Owen Kibira agenda okuttunka ne Hossan Ali(Bangladesh) ne Yusuf Nkobeza aline omuwaguzi wakati wa Lewis Richardson (Bungereza)ne Haans Khan (Wales)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *