Abazannyi ba Karate betegefu okubulula omuzannyo gwabwe.

0

Abazannyi n’abaddukanya kiraabu za Karate batandise okufunvubira okulaba nga babulula omuzannyo.

Pulezidenti w’ekibiina kino ow’ekiseera , Haruna Ssentumbwe bamuwadde olwa August 30 okubeera ng’abannyonyola obukulembeze obwamukwasibwa emyaka esatu egiyise we butuuse ku kuzza obuggya omuzannyo.

Bano baagala kutandika kuvuganya mu mpaka ez’ebweru w’eggwanga nga batandikira ku zinaabera e Congo nga July 22-28 Great Lakes Championships Bazzeeko eza JKA Championships e Tanzania nga September 15-20.

Batunuulidde n’okwetaba mu mpaka za All Africa Championships e Durban mu South Africa nga December 2-4.

Twagala kulonda bukulembeze buggya obunatutuusa ku kumanyibwa gavumenti omuwandiisi w’akakiiko ak’ekiseera Martin Emoku bweyategeezezza.

Bano omwaka ogujja baagala babe nga bamaze okutuukiriza obukwakkulizo bwa gavumenti okuddamu okwewandisa wansi wa NCS kubanga kati ekibiina kyabwe tekimanyiddwa olwobutewandisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *