Handball : Sharon Aedeke yeewera kusitukira mu kirabo ky’omuteebi wa sizoni.

0

Mu liigi ya handball :

Mu bakazi

  1. Makerere 17 – 48 Victoria University.
  2. Ndejje 10 – 0Prisons.

Mu basajja.

  1. Makerere 30 – 32 Evergreen
  2. Kyambogo 24 – 29 Police
  3. Ndejje 10 – 0 Prisons.

Kapiteeni wa Victoria University mu liigi ya handball, Sharon Aedeke yeewera kusitukira mu kirabo ky’omuteebi wa sizoni.

Kiddiridde omutindo gwe yayolesezza ku wiikendi bwe yafuukidde Makerere University ekizibu nga yabakubye ggoolo 14 mu muzannyo Victoria University gwe yawangudde.

Mu kiseera kino, alina ggoolo 28 emabega wa Diana Tiperu 33 (UPDF) Hilda Abangit 35 (Victoria) ne Priscilla Aber 36 (Kyengeza) Aedeke  mugumu wadde bano bamukulembedde naye agenda kubassaako akazito.

Ebula ensiike ssatu zokka ekitundu ekisooka ekya liigi   okukomekkerezebwa, ttiimu zogeddemu ggiya nga buli emu erwanira okumalira mu bifo ebisava okutangaaza emikisa gy’ekikopo sizoni eno.

‘’Njagala kirabo kya muteebi asinga sizoni eno era ng’enda kulwana okufiirawo n’okulaba nga ttiimu yange emalirira mu bifo ebisatu ebisooka’’. Aedeke bwe yaweze.

Ensiike za liigi zonna zizannyirwa ku kisaawe ekibikke ekya Old Kampala, Police y’ekulembedde abakazi n’obubonero 8 ate Ndejje ekyali ku ntikko y’abasajja n’obubonero 8.           

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *