Ebitongole byongedde okugula emijoozi okusobola okujumbira emisinde gya Kabaka.

0

Ebbugumu mu misinde gyamazaalibwa ga Ssaabasajja buli lukya lyeyongera nga ne ggulo abantu Ssekinoomu wamu n’ebitongole bakulumuse okutuuka ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo ne BBS Terefayina okugula emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino. Ebimu ku bitongole ebyaguze emijoozi gino kuliko; Uganda Red Cross Society, BMK Group ne Hotel Africana,  Ddungu Estates, CBS PEWOSA, Roofings

Ebbugumu mu misinde gyamazaalibwa ga Ssaabasajja buli lukya lyeyongera nga ne ggulo abantu Ssekinoomu wamu n’ebitongole bakulumuse okutuuka ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo ne BBS Terefayina okugula emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino.

Ebimu ku bitongole ebyaguze emijoozi gino kuliko; Uganda Red Cross Society, BMK Group ne Hotel Africana,  Ddungu Estates, CBS PEWOSA, Roofings awamu n’ebitongole ebirala.

Bweyabadde akwasa  abakungu  okuva Ekitongole ki Uganda Red Cross emijoozi omumyuka asooka owa Katikkiro  Owek. Prof. HAJJ. Twaha  Kawaase Kigongo yategeezezza nti  mumativu nti Mukenenya wakulinnyibwa ku nfeete nga kino kyeyolekera ku muwendo gwabantu abategedde ku bukulu bw’abadde abeekebeza awamu n’okwetangira ekirwadde ki Mukenenya.

Ssaabawandiisi wa Uganda Red Cross Society, Robert Kwesiga n’omwogezi w’ekitongole kino Irene Nakasiita bagamba nti nga bwebazze bakola neku mulundi guno basazeewo okwennyigira obutereevu mu nteekateeka eno kubanga ya byabulamu ate nga ekwata ku buli omu.

Ye akulira kampuni ya BMK ng’eno yetwala Hotel Africana, Haruna Kalule Kibirige, yeebaziza Ssaabasajja olw’enteekateka zasaawo okutumbula embeera z’abantu era nawera okuziwagira obutakoowa.

Mungeri yeemu Owek. Kawaase era yakwasiza  ekitongole ki Roofings emijoozi gyekyagulidde abakozi baakyo nabo okwetaba mu misinde  gino.

Ate Minisita w’Abavubuka emizannyo nokwewummuzaamu mu Buganda owek. Henry ssekabembe Kiberu bweyabadde akwasa Patriko Mujuuka emijoozi egiguliddwa omu ku bawuliriza ba CBS  awangalira emitala wa Mayanja era akulira ekitongole ki  DDUNGU ESTATES  Rogers Ddungu yakunze abantu ba Kabaka okugula emijoozi gino mu budde beewale okuseerebwa.

Ono era yakwasizza ne bannabitone aba B2C emijoozi era nasaba abalala okubalabirako basobole okuyambako okulwanyisa ekirwadde kino.

Mu balala abaguze emijoozi gino ku BBS Terefayina kuliko aba  Bika byaffe Foundation nga bakulembeddwamu Bulasio kabule Mutanda ne Jamil Kivumbi, aba Bloemfontein CBS,  CBS PEWOSA NSINDIKA NJAKE ETEETEREKERA SACCO e Lubaga.

Mu buufu bwebumu Omuk. Guster Ntakke yaguze emijoozi egyaweze nasaba giweebwe abayizi mu masomero nabo okwetaba mu misinde. Owek. Ntake yategeezeza nti  kino akikoze okunnyikiza ensonga eno mu mugigi omuto  kubanga  rye ggwanga eryenkya.

Abalala abaguze emijoozi kuliko; Halal Supermarket, Ettendekero lya  Makerere Business Institute   awamu n’abalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *