Vipers  kati eramuza Uganda Cup oluvanyuma lw’okuwangula liigi.

0

Omutendesi wa Vipers SC, Roberto Oliviera agambye nti olugendo lw’okuwangulira kiraabu eyo ebikopo yaakalutandika kubanga ayagala bisatu.

Wakati mu ssanyu, Oliviera enzalwa ya Brazil ategeezezza nti ayongedde okusoma abasambi be kiki kye basobola okulola era nga bagenda kuvuganya bulungi mu kikopokya Champions League ekyetabwamu kiraabu za Africa eziwangudde liigi.

Ebivudde mu liigi ya StarTimes Uganda.

  • Vipers 5 Police 0
  • KCCA 0 Wakiso Giants 1
  • Tooro United 0 URA 7
  • BUL 1 SC Villa 0
  • Arua Hill 1 Express 0
  • Busoga 1 Gaddafi 2
  • UPDF 1 Onduparaka 2
  • Bright Stars 2 Mbarara City 0
Abazannyi nga bekubisa ebifananyi

 “Abazannyi nnyongedde okubamanya. Nayingizza Bright Anukani mu kifo kya Musa Ssali n’akyusa omupiira ne tuteeba ggoolo ssatu mu ddakiika ttaano. Kati njagala kikopo kyakubiri bwe tunaasisinkana BUL FC ku fayinolo ya Uganda Cup e Masindi nga June 12,” Oliviera bwe yategeezezza nga baakawangula ekikopo kya liigi ya Star Times ku buteka e Kitende ku Lwomukaaga nga May 21 2022.

Emipiira gya Star Times egya liigi munaana gye gyasambiddwa ku Lwomukaaga ng’omukulu gubadde ku kisaawe kya St. Mary’s Kitende ba nnyinimu aba Vipers SC gye bakubidde Police FC eyasaliddwako mu liigi ggoolo 5-0.

Abasambi Milton Karisa ne Bobos Byaruhanga baateebye buli omu ggoolo 2 okwetattiddwa eya Yunus Sentamu okuwangula ekikopo kya liigi ekyokutaano.

Okusamba omupiira guno Vipers SC ekikopo yali yakiwangula wiiki ewedde bwe yabadde ekulembedde nga tewali ttiimu egisemberedde ku bubonero 71.

Okuwangula Police kwatuusizza Vipers ku bubonero 74 n’emenya likoda ya ttiimu za Uganda okuangulira ku bubonero obusinga obungi ate n’endala okuba nti y’ekyasonze okuwangulira ku njawulo y’obunonro ennene. KCCA FC eyakutte ekyokubiri yamazeeko liigi n’obubonero 56.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *