NIC ekyeriisa nkuuli mu za ‘East African Netball Clubs Championship’.

0

East African Netball Clubs Championship

Ekibinja A

  • NIC 75 – 30 KVZ (Kenya)
  • NIC 70 – 28 Uhamiagi (Tanzania)
  • NIC 69 – 25 JKT Mbweni (Tanzania)
  • NIC – Prisons (May 12, 2022)

National Insurance Corporation (NIC) bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga enkulu ey’okubaka, beeriisa nkuuli mu z’obuvanjuba n’amasekkati g’Afrika ezindira e Kamwokya mu Kampala.

NIC be bakyampiyoni b’empaka zino ze baakawangula emirundi 19 nga banoonya kikopo kya 20. Empaka zino zaatandise ku Ssande May 8, 2022 zikomekkerezebwa May 15, 2022.

Mu mpaka z’omulundi guno, baakawangula ensiike ssatu kw’ezo ennya ze balina okuzannya era zonna baziwangudde nga kati beetaaga kumegga Prisons (Uganda) bwe bali mu kibinja ekimu okwenywereza ku ntikko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *