Crested Cranes eyise kukawewevu mu za CECAFA w’abakazi agenda okubeera e Njeru.

0

Crested Cranes ttiimu y’eggwanga enkulu ey’abakazi abasamba omupiira,eyise wagonvu mu bibinja by’ekikopo ky’empaka za CECAFA omutendesi George William Lutalo n’awera.

Ku Lwokusatu ekibiina ekitwala omupiira gwa CECAFA wansi wa CAF (ekibiina ekifuga omupiira mu Africa) kyakutte obululu bw’amawanga munaana agagenda okwetaba mu z’obuvanjuba n’amasekkati g’Afrika ezitandika wiikendi ejja ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru buli ttiimu n’etegeera mw’egenda okuvuganyiza.

Uganda yassiddwa mu kibinja A omuli; Rwanda gye baakasisinkana omulundi gumu gwokka mu ekikopo kino (2018) bwe baakola amaliri (2-2) mu 2018 e Kigali, Burundi baagikuba (1-0) mu 2016 ne (2-0) mu 2019 nga balwanira ekifo ekyokusatu e Njeru mu kikopo ky’ekimu ne Djibouti gye baakuba (13-0) mu 2019.

Crested cranes nga ebatwaala

“Ebibinja byombi by’amaanyi naye ate ekyaffe kiri yaddeko ssinga tubeera twetegese obulungi kyensuubira nti tugenda kukituukiriza era emikisa gy’okuvaamu mingi nnyo naddala nga ffe bategesi,” Lutalo bwe yategeezezza.

Ekibinja B kirimu; Tanzania abaakasinga okuwangula ekikopo kino emirundi emingi (2016 ne 2018), Kenya bakyampiyoni ba sizoni ewedde (2019), Zanzibar abaasookera ddala okuwangula ekikopo kino mu 1986 ne South Sudan abatakiwangulangako.

Empaka zino zitandika wakati wa May 22 – June 5, 2022 ku kisaawe e Njeru, Uganda ne Burundi bagenda kuzikozesa okwetegekera ez’Africa (2022 Total Energies Women Africa Cup of Nations) mu kibuga Rabat ekya Morocco wakati wa July 2 ne 23, 2022.

Abazannyi ba Uganda bali mu nkambi ku Paradise Hotel e Kisaasi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *