Poliisi ewonyezza Ddiifiri okugajambulwa abawagizi ba Ndejje mu liigi ya yunivasite

0

Ttimu ya Ndejje Yunivasite

Poliisi y’e Kabalagala etaasizza ddifiri ku bawagizi ba Ndejje University abaabadde bamugajambulira wakati mu kisaawe ku bigambibwa nti yabasalirizza ne bakubwa K.U (2-1) mu liigi ya yunivasite.

Mu liigi ya yunivasite

K.U 2-1 Ndejje

Kyaddiridde ddifiri Lucky Razake Kasalirwe okugabira K.U penati mu ddakiika essatu ezaabadde zongeddwa mu 90 ng’omupiira guli (1-1) olw’omuzannyi wa K.U Gilbert Wanume okutemerwa mu ntabwe ya Ndejje, bannandejje kye bawakanya nti ekisobyo kyamukoleddwaako wabweru wa ntabwe.

Ekyayongedde okusajjula embeera ye Said Mayanja owa K.U okuteeba penati ne bakulembera (2-1), guba gwakatandikibwa mu ssenta mbu Ndejje yeerwanako ate ddifiri Kasalirwe n’agumaliriza. Wano bannandejje tebaamulinze kufuluma kisaawe ne bamusalako ng’enjogera ya leero bw’eri.

Abaamusooseko okuli omutendesi wa Ndejje Musa Ssekago n’abazannyi bakira bamwokya kajjogijjogi w’ebibuuzo, abawagizi gye baavudde ne batandika okwagala okumuyisaamu empi, okumukuba vvuvvuzera ku mutwe, okutuusa Poliisi bwe yayanguye n’emuddusa okumukweka mu mmotoka y’ebidongo.

“Tetubadde bamativu na mutindo gwa ddifiri, ensobi ku muzannyi wa K.U teyabadde mu ntabwe tukakkanye,tugenda kuddayo twetereeze n’okugolola ensobi ate omupiira oguddako tufune obuwanguzi,” Ssekago bwe yeegumizza.

Mu 2016 akakiiko akakwasisa empisa mu liigi ya yunivasite kaagoba Ndejje mu liigi eno lwa bawagizi baawe kulwanagana n’aba Makerere University e Bombo mu nsiike eyali eddirira esembayo mu gy’ebibinja okufunako ababiri abali balina okwesogga ‘quarter’. Okuva 2016, sizoni eno Ndejje kwe kukomawo okuva lwe baakaligibwa.

Ekibinja E kati kikulembeddwa Gulu n’obubonero busatu, K.u (3), Ndejje (3) ne Uganda Martyrs (UMU) etalinaayo kabonero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *