LIIGI YA YUNIVAASITE ETANDIKIDDE MU GGIYA. UCU YEESOMA KUKYEDDIZA.

0

Empaka za liigi ya zi Ynivaasite mu ggwanga erya Uganda zajiddwako akawuuwo era nga omuwendo gwa zi Ynivaasite 22 zeezigenda okwetaba mu mpaka zino.  Ezimaze ebbanga lya myaka 2 nga tezitojjera olw’ekirwadde kya Covid 19. Zino empaka za mulundi gwa 10 era nga ne ssematendekero owa Makerere yakomyewo mu mpaka zino okuva ku kkoligo lyeyweebwa oly’emyaka ebiri olw’okwolesa empisa ensiwuufu.

Uganda Christian University yeyasembayo okutwala ekikopo kino mu 2019 weyakuba St Lawrence ku goolo 2-1. UCU eno yemu yeyaguddewo empaka za sizoni eno era nga yawangudde Victoria Ynivaasite ku goolo 2-0 ezaatebeddwa Enoch Ssekandi ne Isaac Ofoyworth. Emipiira gino gyakusambibwa buli lunaku ku ssaawa mwenda ku zi Yunivaasite ezenjawulo nga bwezirambikiddwa mu bibinja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *