LABA EMISESSERE GYA BASAMBI B’OMUPIIRA EGISINGA OKUNYIRIRA.

0

Bya Jimmy Nteza

Shakira

Ssekanolya akuletedde bakyala ba basambi b’emipiira abasinga okulabika obulunji nga nebwobayiwako amata, ganywebwa. Emisessere gino egimu jikyali mu ssa lya “gaalo fulendi” ate nga abamu bakyala ddala.

Antonella Roccuzzo. Mukyala wa Lionel Messi nga alina emyaka 33. Aviira mu Argentina era nga yafumbirwa Messi mu 2017. Balina abaana 3.

Sophia Weber

Shakira. Ono mukyala wa Gerard Pique era nga abaagalana bano bamanyikiddwa nnyo. Batandika okweyagala mu 2011 era balina abaana babiri. Shakira alina emyaka 45 nga asinga Pique emyaka 10.

Oriana Sabatini. Guno musessere gwa Paulo Dybala. Sabatini alina emyaka 28, aviira mu Argentina. Batandika okweyagala mu 2017. Tebalina mwana.

Sophia Weber. Ono mwagalwa wa Kai Havertz nga bombi be Germany. Bano baakamala emyaka nga esatu nga beyagala era nga tebanazaala.

Pierre Edwards.  Ono mwagalwa wa Alex Oxlade Chamberlain era nga benkana emyka, 28. Batandika okweyagala mu 2016. Balina omwana omu.

Georgina Rodrigue

Pilar Rubio. Ono mukyala wa Sergio Ramos nga alina emyaka 44 nga asinga Ramos emyaka munaana. Bano basisinkana mu 2012 ate nebafumbiriganwa mu  2019. Balina abaana 4.

Georgina Rodriguez. Guno musessere gwa Cristiano Ronaldo era nga alina emyaka 28, Ronaldo amusinga emyaka mwenda. Bekwana mu 2016. Balina omwana omu ku baana ba Ronaldo abana.

Pierre Edwards

Leonita Lekaj. Ono mukyala wa Granit Xhaka nga alina emyaka 30. Balabagana mu 2016 ate nebagatibwa mu 2017. Balina abaana babiri.

Edurine Garcia

Edurne Garcia. Ono mwagalwa wa David De Gea era nga alina emyaka 36, asingako De Gea emyaka etaano. Bayagalana mu 2010 era nga balina owana omu.

Leah Monroe. Guno musessere gwa Tammy Abraham era nga gunyirira bizibu. Monroe alina emyaka 22, bano baakamala emyaka 6 nga beeyagala. Tebalina mwana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *