BAABANO BANNAYUGANDA ABAGUSAMBIRA EBWERU ABASINGA OKUYOOLA OMUSIMBI.

0

BAABANO BANNAYUGANDA ABAGUSAMBIRA EBWERU ABASINGA OKUYOOLA OMUSIMBI.

Bya Jimmy Nteza

Buli musambi w’omupiira alina ekirooto ekyokufuukako pulofeesono nga kuno kwekulinyisa omutindo okusambirako mu ttiimu ezisingako naddala ezisambira wabweru. Bano ekibatwalayo kwolesa kitone naye nga ate ekisinga obukulu kwekufuna akasambi. Bannayugand bangi ensasulwa yaabwe ssinnungi mu ttiimu zebasambira naye ate waliwo abaliisa obuti abafuna omusaala omusava ddala. Ssekanorya ekunokoleddeyo kubano.

Mike Azira.

Ogw’ensimbi agusambira mu New Mexiico United eri mu Mexico. Eno yajjegaseeko mwaka guwedde oluvannyuma lw’endagaano ye okuggwako mu Chicago Fire. Omupiira gwe agusambiddennyo mu tundutundu lya America.

Omusaala gwe mu za Uganda:

Wiiki: 67,000,900/=

Omwezi: 268,809,713/=

Omwaka: 3,227,434,543/=

Herbert Bockhorn.

Munnayuganda ono akulidde mu Germany era nga gyasambira omupiira. Ali mu kirabbu ya VFL Bochum ezannyira mu liigi ya Germany eyawaggulu eya Bndesliga.

Omusaala gwe mu za Uganda:

Wiiki: 35,700,801/=

Omwezi: 142,803,204/=

Omwaka: 1,864,955,507/=

Timothy Denis Awany.

Okuva mu mwaka gwa 2019, asambira kirabbu ya Ashdod SC eya Israel eyamugula mu KCC eya Uganda. Ono akumye omutindo mu ttiimu eno era nga ensasula ye eri bweti.

Omusaala gwe mu za Uganda:

Wiiki: 34,706,402/=

Omwezi: 138,825,608/=

Omwaka: 1,665,907,296/=

Denis Onyango.

Asambira Mamelodi Sundowns eya South Africa  era nga yakajimalamu emyaka ejiwera kkumi n’okusoba. Onyango y’omu ku ba kippa abasing obulungi ku Africa era nga musambi wakusatu ku Mamelodi mubasinga okusasulwa.

Omusaala gwe mu za Uganda:

Wiiki: 25,951,362/=

Omwezi: 103,805,451/=

Omwaka: 1,502,439,975/=

Uche Ikpeazu Mubiru.

Omupiira agusambira mu Cardiff city eya Wales ku bwazike nga ava mu Middleborough eya Bungereza. Ono omupiira gwe agusambidde nnyo mu ttiimu ze Bungereza wadde nga tanafuna mukisa guwagiza mu ttiimu eza pulimiya. Omusaala gweyagerekerwa mu Middlesborough gwatambulirako ne ku bwazike gyali.

Omusaala gwe mu za Uganda:

Wiiki: 24,178,628/=

Omwezi: 96,714,512/=

Omwaka: 1,160,574,144/=

STORY 1

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *