COVID 19 AZINZEEKO LIIGI YA PULIMIYA, ABATEESITEESI SIBAKUJJISAZAAMU, TTIIMU ZISATTIRA

0

FILE PHOTO: A woman holds a small bottle labelled with a "Coronavirus COVID-19 Vaccine" sticker and a medical syringe in this illustration taken October 30, 2020. REUTERS/Dado Ruvic/File Photo

Bya Jimmy Nteza

Ekirwadde KYA Covid 19 kizeemu buto okweliisa enkuli ku Bulaaya era nga liigi ez’enjawulo ziri mu kussatira. Pulimiya liigi ey’ebungereza wiki eyise, bafunye abalwadde abasoba mu 42 nga abamu basambi ate nga abalala bakungu wa zi ttimu. Kino kiretedde emipiira egyenjawulo okusazibwamu olwensonga eno. Covid asinze gwejirisiza mu kirabbu omuli Man Utd, Burnley, Tottenham, Brighton & Hove, Leicester city ne Aston Villa.wiiki ewedde emipiira essatu okuli ogwa Burnley ne Watford, Brentford ne Man Utd n’ogwa Brighton ne Tottenham ate nga n’emirala mingi jikyasazibwamu.

Amateeka amapya agateereddwawo.

Amateeka ag’okwewa ebibanga n’okuteekako obukookolo gakomyewo era nga gabuwaze eri abanayingira ebisaawe okulaba emipiira.

Covid pass yareeteddwa nga buli muntu analaba emipiira alina okujifuna. Eno egabibwa singa obeera ogemeddwa emirundi gyonna egyetaagisa, nga nabo abalaga obubonero bwa Covid baaganidddwa okutambula yadde okwetaba mu balala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *