She Cranes eggulawo ne Zambia mu z’okulwanira ebifo

0

Empaka za Pent Series zigendererwamu okulwanira ebifo ku nsengeka y’ekibiina ekifuga omuzannyo gw’okubaka mu nsi yonna  ekya International Netball Federation.

Okusinziira ku nsengeka y’ekibiina ekifuga omuzannyo gw’okubaka mu nsi yonna, South Africa ekwata kifo kisooka mu muzannyo gw’okubaka mu Africa ate mu nsi yonna ekwata kyakutaano, Malawi ekyakwata kya mukaaga mu nsi yonna nga mu Africa ekwata kyakubiri.

Yo Uganda ekwata kyamusanvu mu z’ensi yonna ate mu Africa ekwata kyakusatu.

Ssinga Uganda ekuba Malawi kiba kitegeeza nti Uganda yakudda mu kifo kya mukaaga mu nsi yonna ate mu Africa edde mu ky’okubiri.

 Omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa ategeezezza nga empaka zino bwe bazetaaga ennyo okusobola okuzza ttiiimu mu kifo eky’omukaaga kye yalimu.

“Amawanga gonna agagenda okuzannya mu kikopo kino tugasobola era ndi mu gumu nti we tunaviira e Namibia nga ensegeka yaffe erinnye,” Mugerwa bwe yannyonnyodde.

Empaka za Pent Series zaakwetabwamu amawanga mukaaga okuli Zambia, Kenya Zimbabwe, Namibia, Malawi ne Uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *