Abetaba n’abalwadde ba covid batadde ebyalo ku bunkenke

0

Embeera ya batuuze abaakosebwa omugalo eyongedde okubanyiga  nebatabukira gavumenti olw’obutatekawo  ntekateka nnungamu kungeri gyegenda okulwanyisaamu Covid ng’abantu bali awaka.


Henry Kabanda ssentebe we kyalo Kazinga Main agambye nti bafiiriddwa  abantu 4 ekirwadde kya Covid ate abasoba mu 200  kigambibwa nti betaba n’abagenzi  ekintu ekitadde abatuuze ku bunkenke  nebatabukira gavumenti okulemererwa okubatuusa obwetavu ate nga yeyabateeka ku mugalo.


Bino abyogedde aliko abantu omuli abakadde , abalema ,  abamawulire bawadde emmere nabo basobole okuyita mu mugalo gubanga mubantu gavumenti beyalangilira okusindikira emitwalo 10 teyabatekamu.


Kabanda agambye nti abantu bano okwetaba nabalwadde ba Covid  baali babajanjaba mu malwaliro abamu awaka kyokka abamu wadde tebanalaga bubonero kyokka betaba n’abantu abalala okwetoloola ebyalo eby’enjawulo.


Abas Mutaawe sentebe wa balema ku kyalo Kireku main ekisangibwa mu Bweyogerere division agambye nti abakadde bangi bakulembera bamutadde kuninga abafunire ku mmere  kubanga gyebali bakoera tebakyasobola kutukayo olw’okubulwa entambula kwekusalawo ng’ali ne bakkansala okubafumirayo ku mmere bafune kyebalya bawanjagidde gavumenti eveeyo abaddukire kubanga embeera y’omugalo ekyabanyiga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *