Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Bobosi Byaruhanga, azeemu okwegatta ku club ya Austin FC II eya America ku ndagaano ya mwaka gumu.

Bobosi avudde mu club ya MFK Vyskov eya Czech Republic, era mu ya Austin FC II azeeyo mulundi gwakubiri.

Mu Club eno yabaddeyo omwaka oguwedde 2023  ku bwazike era nabayamba okuwangula ekikopo kya Major League Soccer Next Pro.

Mu ndagaano gy’ataddeko omukono ne club ya Austin FC II, mulimu akawaayiro ak’okugyongezaayo omwaka omulala singa bongera okumatira ensamba ye okutuuka ku nkomerero ya 2025.

Omulundi ogwasoose nga ali ku bwazike mu club eno, yagizanyidde emipiira 26 nagiteeberamu goolo nakola n’emikisa egivamu goolo 3.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *