Nnaalinnya Dina Kigga asiimye abazannyi n’abakungu ba golf aba Uganda Golf Union olw’okutegeka empaka okujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 30 n’abasaba okukuuma enkola eyo.

Amatikkira ga Kabaka gaakukuzibwa ku Mmande nga July 31. Nnaalinnya ye yakiikiridde Kabaka n’akwasa abawanguzi ebirabo ku kisaawe kya Uganda Golf Club e Kitante.

“Obwakabaka busiima emirimu gyammwe era mbasaba mugende mu maaso,” Nnaalinnya eyawerekeddwaako Naava Kanywanyi ne Sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Patrick Luwaga Mugumbule bwe yagambye.

Empaka zeetabiddwaamu abazannyi 150 nga zagguddwaawo Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga naye eyeenyigidde mu kuzannya era n’asuubiza okutandika okwetabamu.

Wabula Katikkiro asabye KCCA okuzzaawo oluguudo lwa Kitante olwafuulibwa Yusuf Lule Road. “Omugenzi Polof. Yusuf Lule tumwagala nnyo naye tulaba nga yali nsobi okumutuuma erinnya eryaliko ennono y’obuwangwa era nnali nayogera dda ne KCCA ku nsonga eno. Kitante lwali lutobazzi ente za Bassekabaka mwe zaanyweranga amazzi naye ng’ezimu zibbira mu kateebe ne zifa kwe kukituuma Kitante. Nsaba oluguudo lukomewo ate omugenzi bamubbule mu lulala,” Katikkiro bw’agamba.

Yasiimye aba Uganda Golf Club okukuuma ekifo kino nga kirina obulamu n’asimba n’omuti era n’abasaba gyonna g’erimu bagirambeko amannya. “Ebisaawe bya golf ebimu bizimbiddwaamu amayumba era kino kisaana kulwanyisibwa,” bwe yayongeddeko.

Mu bazannyi ssekinnoomu, Patrick Kagurusi mu basajja yawangudde ate Evelyne Asiimwe n’azeetikka mu bakazi.

Eza ttiimu zaawanguddwa aba Absa Bank One ne kuddako Case Medical Services ne Masaka Golf Club. Kapiteeni wa Buganda Golf Club, Sam Mubiru yagambye nti ensimbi ezinaavaamu zigenda Mmengo ku mulanga gwa Kabaka ogw’oku-lwanyisa obulwadde bwa Mukenenya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *