Usain Bolt yannyuka emisinde gy’akafubutuko mu 2017 era kati akola bimunyumira.

0

Nnakinku mu kuwenyuka emisinde gy’akafubutuko mu nsi yonna, Ssaalongo Usain Bolt 36, enzaalwa y’e Jamaica kirabika takyalina situleesi. Kati ali mu kweriira mmane.

Yalabiddwako ku bbiici ya Ibiza Gateway mu Spain ku Lwokusatu nga yeeriira obulamu ne banywanyi be.

Yajjidde mu lyato lye ery’ebbeeyi ng’ayitira mu liyanja lya Mediterranean Sea era olwatuuse n’alibuukako n’agwa mu mazzi g’eriyanja ng’ayambibwako banywanyi be abaamuwerekeddeko.

Yabadde yeesaze ebigoye bya linen ng’ateereddeko gaalubindi enzirugavu ate mu bulago nga mulimu nekireesi eya zzaabu era nga yenna ng’etemagana.

Oluvannyuma yaggyeko essaati n’alaga bbode. Ebyana bingi byalabiddwaako nga binuuka ensingo.

W’osomera bino ng’omuddusi ono eyawangula emidaali gya zzaabu munaana ng’ali mu ssanyu eritagambika olwa mukyala we okutandika okumuwa ezzadde ng’era kati alina abaana basatu. Omuwala Olympia ow’emyaka 2 n’abalongo Saint ne Thunder ab’emyezi 12 abazaalibwa kabiite we Kasi Bennett, 32.

Usain Bolt yannyuka emisinde gy’akafubutuko mu 2017 era mu kiseera kino akola bimunyumira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *