Aba Andrew Kaggwa beetisse eza Fr. Grimes mu Chess.

0

Essomero lya Ntare School lye liwangudde mu balenzi ate St. Andrew Kaggwa – Gombe ge gawangudde empaka za Chess w’amasomero mu mpaka za Fr. Grimes National Schools Chess Championships ezimaze ennaku ssatu nga zibumbujjira ku ssomero kya St. Mary’s College Kisubi.

Empaka zino ez’omulundi ogwa 32 zeetabiddwaamu abazannyi 630, abajjidde mu kiraabu 130 okuva mu masomero 58 nga zaabadde mu mitendera okuli aba siniya, aba pulayimale ne ttiimu ezaavudde mu bitongole ebitali bimu ebyebyenjigiriza.

Ntare School y’ewangudde mu balenzi ng’ewanuddeyo King College Buddo mu balenzi ate mu bawala, St. Andrew Kaggwa Ggombe n’ewanuukululayo URTD – Kagadi eyakiwangula mu bawala omwaka oguwedde.

Empaka zino zaatandikibwawo Fr. Grimes Damien eyali akulira essomero lya Namasagali mu 1984 nga zizze zizannyibwa emyaka gyonna okuggyako egya Corona.

Mu 2018 aba Uganda Chess Federation (UCF) baazikyusa ne zituunimwa Fr. Grimes National Schools Chess Championships era nga zizze zeeyongera ebbugumu.

Omwaka oguwedde zeetabwamu ttiimu 47 okuva mu kiraabu 35.
“Tuli basanyufu kubanga zizze zirinnya omutindo. Tubadde n’abazannyi 635 ng’omwaka oguwedde tufunye 115 bokka. Tukola bulungi mu mpaka z’abato nga tuli bakafulu ku lukalu lwa Africa,” pulezidenti wa UCFF, Emmanuel Mwaka bw’ategeezezza.

Ye. Fr. Grimes kati aweza emyaka 92 yawandiikidde Bannayuganda ebbaluwa okubakubiriza okutumbula Chess mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *