Omuzannyi wa Yunivaasite ya Uganda Christian University (UCU) Bashira Nassaazi y’omu ku bazannyi abali mu kutendekebwa ku ttiimu y’eggwanga eya She Cranes eyeetegekera empaka z’okubaka ez’ensi yonna eza Netball World Cup ez’okubeera mu Cape Town ekya South Africa omwaka guno.

Nassaazi y’omu ku bazannyi 27 abazannyira awaka abayitiddwa ku ttiimu ya She Cranes ng’ono kati awera kuteekawo kuvuganya okwa maanyi okulaba nga asigala ku ttimu ya She Cranes ey’abazannyi 15  egenda e South Africa.

Nassaazi nga ye muzannyi wa UCU yekka eyayitiddwa ku ttiimu y’eggwanga y’omu ku bazannyi abatono ababadde bazannya mu liigi y’okubaka eya Uganda Netball Super League abasobola okuzannya ebifo ebisukdka mu kimu ate ne babizanya bulungi.

Ku mipiira gya liigi egiwera alabiddwako nga omutendesi we owa UCU Nelson Boogere amutandisa nga omuteebi wabula bw’alaba nga ebintu bitabuse n’amutwala ku ludda oluzibizi okuziba eddibu eribaawo.

Nassaazi ajjidde mu kiseera ekituufu nga omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa anoonya okuziba eddibu eririwo mu lugoba oluzibizi wamu n’oluwuwuttanyi oluvannyuma lw’okuviibwako abazannyi okuli Joan Nampungu, Jessica Achan ne Stella Oyella eyavudde ku ttiimu olw’obuvune.

Okulaba ng’aziba eddibu eriri mu lugoba oluzibizi, omutendesi Mugerwa amugezesa mu bifo bibiri okuli mu kuteeba n’okuzibira nga ky’anaasinga okukola obulungi mw’ajja okusigala wadde nga emikisa giri waggulu nti ono waakubeera mu ludda oluzibizi kuba essaawa eno lwe lulimu eddibu.

Ssinga anaamala n’akola obulungi, Nassaazi yandyewangulirira ekifo ku ttiimu eyenkomeredde egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup.

Empaka za Netball World cup zaakubeera mu Cape Town ekya South Africa okuva nga July 28 – August 6 nga Uganda eri mu kibinja kyakuna (D) omuli   omuli New Zealand, Singapore ne Trinidad and Tobago.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *