Omukungu w’ekibiina ky’okubaka agumizza eggwanga.

0

Omukungu w’ekibiina ekifuga omuzannyo gw’okubaka mu nsi yonna ekya World Netball Joan Smith agumizza Bannayuganda ababadde bafunye okweraliikirira ku mutindo gwa She Cranes nti baakukola bulungi mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup ez’okubeera mu Cape Town ekya South Africa omwaka guno.

Smith enzaalwa ya Namibia, akulira okukulaakulanya omuzannyo gw’okubaka ku lukula lwa Africa ku kibiina ky’ensi yonna okwogera bino asinzidde mu lukiiko lwa banamawulire olutudde ku ofiisi z’ekibiina  ku Agha Khan building ku Old Kampala.

Ono abadde akomekkereza obugenyi bw’abaddeko wano obumaze ennaku essatu. Mu by’abadde azze okutunuulira mubaddemu  okwekenneenya engeri  ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation gye kyetegekeddemu empaka z’okubaka ez’ensi yonna eza Netball World Cup kw’osa n’okutema empedda ku butya Uganda bw’eva mu kifo eky’omunaana ky’erimu essaawa eno okudda mu bifo ebitaano ebisooka.

Uganda okutuuka okugwa mu nsengeka y’okubaka mu nsi yonna kyaddirira obuteeba mu mpaka za Africa eza Africa Netball Championships ezaali e South Africa omwaka oguwedde.

Ndi misanyufu okuba nga nayogeddeko ne minisita Peter Ogwang n’ankakasa nti gavumenti ya Uganda egenda kuwaayo obuyambi bwonna obwetaagisa okulaba nga She Cranes yeetegekera bulungi empaka z’okubaka ez’ensi yonna.

Era bankakasizza nti She Cranes yaakufuna emipiira egy’omukwano okulaba nga ekung’aanya obubonero obugizza mu bifo ebitaano ebisooka,” Smith bwe yategeezezza.

Ku bugenyi obw’ennaku essatu, Smith abadde mu kafubo n’akakiiko ka National Council of Sports ne minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang  ng’era pulezidenti w’ekibiina ky’okubaka ow’ekiseera, Brigadier General Flavia Byekwaso mugumu nti ensisinkano eno yaakuvaamu ebibala.

“Njagala okusiima ennyo gavumenti olw’obweyamo bwe yatuwadde ng’era tuli bagumu nti obuyambi buno bwakuyamba She Cranes okwetegeka obulungi,'” Byekwaso bwe yatangaazizza.

Empaka z’ensi yonna eza Netball World cup zaakubeera mu Cape Town ekya South Africa okuva nga July 28- 06 August  nga Uganda eri mu kibinja ekyokuna omuli New Zealand, Trinidad and Tobago ne Singapore.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *