Mayanja afunye obuwanguzi obusooka ku KCCA.

0

Oluvannyuma lw’okuweebwa omulimu mu kiraabu ya KCCA FC, Jackson Mayanja yakakasizza nga bwagoba ekikopo kya sizoni eno olw’okumegga SC Villa 4-1 mu liigi ya babinywera. 

Guno gwabadde mupiira gwa Mayanja ogusooka bukya aweebwa mulimu guno ng’omutendesi ow’ekiseera ku lw’okusatu wiiki ewedde oluvannyuma lwa Morley Byekwaso okusulawo ttawulo. 

Mayanja ne batabani be bazze mu nsiike eno nga tebalina buwanguzi bwonna mipiira ena gye babadde bakazannya nga n’abawagizi essuubi ly’okuwangula ekikopo lyabaggwamu dda. 

Jackson Mayanja yakoze enkyuka kyuka mu ttiimu ye esooka bwe yaleese bamusaayimuto okwabadde Said Mayanja ne Haruna Lukwago beyali nabo mu mpaka za U-20 ezaabadde e Misiri omwaka guno. 

Abazannyi bano tebamuyiyiiyo bwe bayolesezza omutindo omulungi okwabadde Mayanja n’okuteeba ggoolo ye eyasoose mujoozi gwa KCCA. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *