Ng’oggyeeko ggoolo Salah ze yakubye Man U (kati alina 11),Salah agenda addamu okukola ebyamufuulanga omuzannyi ow’enjawulo ku Sadio Mane.

Bano bombi baali bateeba kyokka nga Salah awoomesa omupiira okumusigako.

Engeri gye yasazeemu Lisandro Martinez ng’awa Gakpo paasi eyavuddemu ggoolo ,yabadde ya njawulo.

Yamukanze  ne yeesonseka ettaka nga Salah tamukuteeko.

Ekyoto kya Liverpool bwe kiba kyagala okuteeba ggoolo,Salah alina okukola bulungi era enkolagana ye ne Nunez  nkulunyo mu lutalo luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *