Kampala Queens ebulayo wiini emu etwale ekya liigi y’abakazi.

0

Judith Sanyu ku kkono owa Kampala Queens ng'attunka ne Ritah Wanyeze owa Byafaayo Queens

Bawala ba Hamza Lutalo aba Kampala Queens, baayongedde okutabuka bwe baawuttudde ttiimu ya Byafaayo Queens ggoolo 7-0 mupiira gw’okwegezaamu ku kisaawe kya Masharik nga beetegekera ensiike ya She Mak mu liigi ya babinywera ku wiikendi. 

Ku Ssande, Kampala Queens ekyaza She Mak e Kabojja mupiira gwe beetaaga okuwangula balangirirwe ku bwakyampiyoni ba sizoni eno oluvannyma lwa ttiimu ezibagoba okuba nga bazisinga obubonero 14. 

Ggoolo za Kampala Queens zaateebeddwa, Jamirah Nabulime 52, Hasifah Nassuna 57, Grace Aluka 65, 72, Lilian Mutuuzo 79, Sophia Nakiyingi 82, ne Elizabeth Nakigozi 89, mu kitundu ekyokubiri oluvannyuma lw’omupiira okulemagana (0-0) mu kitundu ekisooka. 

category%2F3&fc=384&brdim=-16%2C60%2C-16%2C60%2C1024%2C0%2C1024%2C695%2C1008%2C550&vis=1&rsz=%7C%7Cs%7C&abl=NS&fu=128&bc=31&ifi=14&uci=a!e&btvi=2&fsb=1&xpc=9b1rqGCfHw&p=https%3A//www.bukedde.co.ug&dtd=34 Kampala Queens y’ekulembedde liigi n’obubonero 33 mipiira 11 nga tebannakubwamu mupiira gwonna sizoni eno. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *