LAWRENCE MULINDWA ALEESE OMUZUNGU BIANCHI OKUTENDEKA VIPERS SC

0

Ssenkulu wa ttiimu ya vipers sc dr. Lawrence mulindwa ayongedde okulaga amannyi ge n’okukiriza mu batendesi abebunaayira walonze omubrazil Roberto luiz bianchi pelliser amanyiddwa nga beto bianchi okubeera omutendesi owa ttiimu ya vipers sc.

Beto bianchi wakudda mu kifo kya Roberto oliviera eyayabulidde ttiimu eno neyegatta ku simba eya Tanzania naye nga weyaviiriddeko, yalese vipers ajiyisizaawo okujituusa mu mpaka eza babinywera ku lukalu olwa Africa mwenatunkira ne simba, horoya ne raja cassablanca.

Bianchi wakukola ne Roberto Martinez, wamu ne Richard wasswa nga abamyuka be ate ye Ibrahim mugisha abeere omutendesi wa bakwasi ba ggoolo.

Bianchi atendeseeko omupiira mu mawanga agenjawulo nga mu spain jeyatendekera ku cuidad de Murcia b, Atletico cuidad ne lorca deportiva. Atendeseeko ne kazma eya Kuwait, Zamora eya Venezuela, ne Batavia union wamu ne pro duta eza Indonesia. Wano ku Africa, bianchi atendeseeko ku gd interclube ne petro de Luanda eza angola wamu ne ttiimu ye ggwanga eya angola.

Nannyini ttiimu eno Lawrence mulindwa wabadde ayanjula omutendesi bianchi, amukwasiza eddimu eryokuyambako vipers okukola obulungi mu kikopo kya babinywera ekya Africa kubanga ekyo kyekigendererwakye bulijjo ate nga era yategeezeza nti ekimwagaza ennyo abatendesi abava ebunaayira, nti baleeta endowooza empya ku ttiimu n’omupiira gwa Uganda okutwaliza awamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *