Nsibambi azzeeyo ku ppulo mu Oman.

0

Oluvannyuma lw’okumala emyezi esatu gyokka mu kiraabu ya URA FC, Derrick Nsibambi abadde omuteebi waabwe, afunye ttiimu emukansa mu ggwanga lya Oman. 

Nsibambi, eyaliko omuteebi wa KCCA nga yeegatta ku URA FC mu mwezi gwa September omwaka oguwedde kyokka ttiimu eno yagyabulidde oluvannyuma lw’okwolesa omutindo gw’ekibogwe bwe yateebye ggoolo bbiri zokka mu kiseera w’abeereddeyo. 

URA, yatadde obubaka ku mikutu gyayo gyonna okwabadde ogwa Twitter ng’ekakasa nti Nsibambi bwe yabaabulidde okwegatta ku Albashaer eya Oman. 

“Twebaza ebirungi Nsibambi by’atukoledde mu kaseera k’amaze naffe era tumwagaliza birungi byereere mu ttiimu ye empya gye yeegasseeko,” URA FC bwe yategeezezza mu bubaka bwe yatadde ku twitter. 

Oluvannyuma lwa Nsibambi okugenda, URA yakansizza abadde omuteebi wa St. Lawrence University n’essaza lya Buddu, Bruno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *