Byron Rugomoka

2022 Mosac Kigezi Boona Rally

Byron Rugomoka 1:34:30.80

Jonas Kansiime 1:36:22.50

Mark Lubega 1:50:48.10

Oscar Ntambi 1:54:23.40

Ibrahim Lubega Passuwa 1:54:54.00

Ponsiano Lwakataka engule ya mmotoka z’empaka eya NRC emuyise mu myagaanya gya ngalo omwaka guno oluvannyuma lw’okusubwa empaka bbiri ezibadde ziggalawo kalenda eno 2022.

Lwakataka abadde akulembedde engule eno okuva ku mpaka ezaggulawo kalenda omwaka guno wabula oluvannyuma yaggalirwa mu kkomera, ekyawadde ababadde bamuvuganya omwagaanya okugimusuuza.

Eggulo, ku Ssande empaka za Kigezi Boona eziggalawo kalenda ya NRC bwe zaakomekkerezeddwa mu disitulikiti y’e Rukungiri, nga zaawanguddwa Byron Rugomoka.

Nga tugenda mu mpaka zino, Lwakataka yabadde akyakulembedde ku ngule n’obubonero 332, Jonas Kansiime (271.5), Byron Rugomoka 254 ne Umar Dauda mu kyokuna ku bubonero 248.

Abavuganya Lwakataka bonna baabadde banoonya kumalira mu bifo ebibiri ebisooka, Rugomoka bonna yabasinze ensumika bwe yavugidde essaawa 1:34:30.80, Kansiime 1:36:22.50 ate Omar Dauda teyamazeeko olwa mmotoka ye okwonooneka.

Kati Rugomoka ye kyampiyoni wa NRC omwaka guno gye yawangulidde ku mugatte gwa bubonero 354, Kansiime 351.5, Lwakataka 332 ne Dauda 248.

Rugomoka yategeezezza nga omutima omumalirivu bwe kyamuyambye okukozesa sipiidi gy’abadde tavugangako ate n’emmotoka ekika kya Mitsubishi Evolution 10 emubeeredde ya mukisa bukya agigula ku Ronald Ssebuguzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *