University Football League ejaguza emyaka 10 bweddu.

0

Olukiiko oluddukanya empaka za University ez’omupiira  ogw’ebigere eza University Football League,lusazeewo  okusiima abazannyi n’abakungu abatali bamu abasinze okukolera empaka zino,bwebanaaba bajaguza emyaka 10 empaka zino ze zakamala nga zitegekebwa.

University Football League zaatandika okutegekebwa mu 2012, era Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino Vincent Kisenyi bwabadde eyogerako eri banamawulire e Lugogo mu Kampala, agambye nti emikolo gy’okusiima abasinze bannabwe gigenda kubeerawo nga 12 omwezi ogujja ogwa December ku Imperial Royal mu Kampala.

Engule 10 zezigenda okulondebwako abawanguzi okuli engule y’omuzannyi asinze mu myaka gino 10, omukwasi wa goolo asinze, omuzibizi asinze, omuwuwuttanyi asinze, omuteebi asinze, omutendesi asinze n’engule endala.

Abawanguzi ku ngule ezimu bagenda kulondebwa bannamawulire n’abawagizi okutandika ne wiiki ejja.

President wa Association of Uganda University Sports, Peninah Kabenge, agamye nti empaka zino zeyongedde okutumbuka, omutindo n’omuwendo gwa University ezizeetabamu.

Baatandika ne University 6 zokka ezoomu Kampala ne Wakiso, kyokka nga werutukidde olwaleero balina University 22 okwetoloola Uganda yonna, nga bayambibwako abavugirizi aba Pepsi ne Red Rhinos.

Uganda Martyrs University bebawangudde empaka z’omwaka guno 2022 ez’okujaguza emyaka gino 10,nga baakubye St Lawrence University goolo 1 – 0 mu kisaawe e Lugogo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *