Eyaliko kapiteeni wa Cranes,Denis Onyango yasazeewo okulinnya ennyonyi okuva e South Africa ajje asambe omupiira ogusiibula Tony Mawejje.

Omusasi waffe yayogeddeko ne Kitego Onyango e Lugogo ng’omupiira guwedde era emboozi ye yagenze bw’eti.

ENDIBA:      Ozze ku mupiira ogusiibula Mawejje ,ate ogugwo gw ddi?

ONYANGO: Ye ,Tony awummudde omupiira era y’ensonga lwaki tuli wano,wabula nze sinnabaunnyuka                  mupiira era bwe nkita,nja kuteekawo omupiira ogunsiibula.

ENDIBA:      Obadde mu ggoolo ng’abawagizi baleekaanira waggulu nti okomewo ku Cranes,olina essuubi okudda ku Cranes kubanga okyamalako?

ONYANGO: Nedda ,sisobola kudda ku Cranes.

ENDIBA:      Lwaki tosobola kudda ate ng’abawagizi bakyakukkiririzaamu?

ONYANGO: Kubanga bwennasambye omupiira ogusiibula Mawejje kitegeeza nti nange essaawa yonna ng’enda kuwummula.

ENDIBA:      Kati ogenze,ani musika wo gw’olese?

ONYANGO: Charles Lukwago ne Salim Jamal ali e South Africa ,bakkipa balungi era singa babawa obudde ,bagenda kubeera balungi.

ENDIBA:      Bizibu ki by’osinze okufuna ebbanga ly’osambidde omupiira?

ONYANGO: Okusamba nga tosasulwa kyali kinnuma nnyo.

ENDIBA:        Kati wakikola otya okutuuka awo w’oli?

ONYANGO:  Olina okulemerako okutuusa lw’otuuka ku lyengedde nga bwekiri kati nga ndi e South Africa.

ENDIBA:      Muteebi ki akyasinze okukuwa obuzibu?

ONYANGO: Geoffrey Sserenkuuma y’akyasinze okumpa obuzibu.

ENDIBA:      Mupiira ki gw’otayagala kujjukira mu byafaayo byo?

ONYANGO:  Omupiira gwa Cranes nga tusamba Benin ku bugenyi mu kunsunsulamu abaneetaba mu AFCON era twakubwa ggoolo 4-1 era ku olwo katono nve ku mupiira gwa Cranes.

ENDIBA:      Mupiira ki gw’okyasinze okujjukira mu bulamu bwo?

ONYANGO:  Mipiira mingi ku ttiimu y’eggwanga ne ku kiraabu wabula omupiira nga tuwangula ekikopo kya CAF Champions League ne Mamelodi Sundowns ne Cranes nga tuyitamu okugenda mu AFCON 2017.

ENDIBA:      Ttiimu ya Cranes eriwoogiraba wa?

ONYANGO:  Babadde bakyagizimba era tubawe obudde.

ENDIBA:      Kiki ddala ekyakuggya ku mupiira gwa Cranes?

ONYANGO: Nnali nkaddiye nga njagala kulekera bamusaayi muto.(n’aseka ng’akimanyi ky’ayogera kyandibeera ekitali kituufu).

ENDIBA:       Nedda ddala ekituufu kye ki ekyakuggya ku mupiira gwa Cranes?

ONYANGO: Nkimanyi nti mmwe mwagala ansa ndala wabula sigenda kugibawa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *