Kiplimo ye munnayuganda asoose okuwangula emisinde gy’okutolontoka ebyalo.

0

Omuddusi w’emisinde emiwanvu Jacob Kiplimo afuuse munnayuganda asoose mu byafaayo okuwangula emisinde gy’okutolontoka ebyalo egya Great North Run egyayindidde mu Bungereza.

Kiplimo emisinde gino egya kirommita 21 yagiddukidde eddakiika 59:33 n’amegga Selemon Barega enzaalwa ya Ethiopia eyamalidde mu kyokubiri mu ssaawa 1:00:39 ate Kenenisa Bekele naye enzaalwa ya Ethiopia n’amalira mu kyokusatu nga yaddukidde 1:01:01.

Kiplimo yategeezezza nti okwetegeka  obulungi omwaka guno bye bimu ku bimuyambye okutuuka ku buwanguzi.

Omwaka guno guntambulidde bulungi kuba natandika na buwanguzi mu miside gy’ensi yonna egyali mu Oregon ekya Amerika, emizannyo gya Common wealth kwossa n’okuwangula gino emisinde, Kiplimo bwe yategeezezza.

Yagasseko nti Omutendesi wange yanteggeezeza emisinde gye nnina okwetabamu omwaka guno era ne tutandika okugyetegekera kye kivuddeko okumpa obuwanguzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *