Rugby Cranes  kati yeepikira gya Commonwealth ne World Cup oluvanyuma lwokuwangula eza Afirika

0

Oluvannyuma lwa ttiimu y’eggwanga eya ‘Rugby’ emanyiddwa nga ‘Rugby Cranes’ okuwangula empaka za Afrika, obwanga kati ebutunuulizza mizannyo gya Commonwealth kw’ossa eza World Cup.

Rugby Cranes yamezze Mozambique ku fayinolo ku ggoolo 26-00 mu mpaka ezaazannyiddwa ku Kyadondo Rugby Grounds n’esitukira mu kikopo kino ekya ‘2022 Rugby Africa Sevens’.

Uganda yamazeeko empaka zino nga tekubiddwa, ng’ensi endala ze yakubye kwabaddeko Kenya ku ggoolo 22-12, Burundi 73-00, Tunisia 29-00, Zambia 40-00, n’okukuba Burkina Faso 50-00.

Tolbert Onyango omutendesi wa Rugby Cranes agambye nti ke bawangudde empaka zino, obwanga kati babutunulizza mizannyo gya Commonwealth egy’omwaka guno guno eginaabeera mu kibuga Birmingham e Bungereza kw’ossa eza World Cup.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *