Gavumenti eyongere ssente mu mizannyo -Muhoozi

0

Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba ayagala Gavumenti eyongere amaanyi mu kuteeka ensimbi mu mizannyo

Muhoozi bino yabyogeredde ku kabaga ke akategekeddwa mikwano gye ku kisaawe kya Cricket Oval mu Kampala.

Yategeezezza nti Gavumenti erina okwongera ssente mu kuzimba ebisaawe mu mizannyo egy’enjawulo okwetoolola eggwanga kyongere okukendeeza abavubuka abatalina byakukola.

Agamba Uganda erina abavubuka bangi abatalina mirimu, nga ssinga Gavumenti enaayongera amaanyi mu mizannyo gye bettanira ennyo kijja kubayambako okugyenyigiramu kikendeeze ku bumenyi bw’amateeka.

Muhoozi azze yenyigira mu mizannyo egy’enjawulo okuli okugivugirira obutereevu omuli; piki-piki z’empaka, ebikonde, emisinde n’omupiira.

Mu 2019 bwe yali ku mpaka z’ebikonde e Lugogo yawa UBF ekibiina ekibitwala ensimbi obukadde 34 buyambeko mu kugulira kiraabu ebikozesebwa omwali giraavu, ensawo ezikubibwa mu kutendekebwa, emijoozi n’ebirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *